Ayi Ssabasajja Kabaka, Magulu nyondo, Beene, Ccuucu, ffe aba Ndejje Senior Secondary School tukuyozayoza mu mukwano n’essanyu eppitirivu okutuuka kumatikira go ag’emyaka 28, gewasiimye okukuliza mulubiri lwo olwe Nkoni mu Buddu.
Mu mulembe gwo ‘Omutebi’ gwe wakwasa abavubuka, bingi ebitukiddwako nga okutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu, eby’obulimi n’obulunzi, eby’obwegassi, eby’emizanyo n’obulambuzi wamu nebirala nkumu.
Ayi Beene, tukusabira owangaale emyaka kafukunya nga oli ku ntebbe yabajjajjabo ng’olamula Obuganda.
Wangaala Maaso Moogi, Wangaala Buganda Nnyaffe.